ELLY KYEYUNE: Bemba Musota

1. a) Ebyafaayo n’obuwangwa eby’ekiyudaaya ebyogeddwako mu muzannyo guno bye biruwa?

b) Ebyafaayo n’ ebyobuwangwa ebyo birina bukulu ki mumuzaanyo?


2. Newankubaadde Bemba afuba okweyambisa amaanyi ga balubale ng’asamira okukamala, kyokkaa balubaale bamwabulira olw’amawaggali ge. Nyonnnyola n’ebyokulabirako.

 

WYCLIFFE KIYINGI : Lozio Bba Ssesiria

3. a) Laga engeri omuwandiisi gy’atunyonnyolamu enfaanana ya Ssesiria mu kitundu ekisooka ng’omuzannyo gutandika.

b) Lwaki omwandiisi Ssesiria amulaga bwatyo?

4. “Era mwana wange ka nkubulire okyali mulenzi muto, tokkirizanga sitaani kukukema kutuuka awo.”

a) Ani ayogera ebigambo ebyo era abigamba ani?

b) Nyonnyola mu bufunze embeera ebaawo ebigambo ebyo biryoke byogerwe.

c) Nyonnyola n’ebyokulabirako ng’olaga engeri sitaani gye yeefuze omuzannyo Lozio Bba Ssesiria.

 

E.K.N. KAWERE: Zinunula Omunaku

5. Nyonnyola bulungi engeri Mikolo ne Mirembe gye bali ettabaaza y’obuwanguzi bwa Zinunula bw’atuukako mu lugero Zinunula Omunaku.

6. “….Mu bantu abaali bamwetoolodde neekalirizaamu abantu babiri. Mu bano okubonaabona, n’oluvannyuma essanyu lyange mwe ly’ava. Omu yali muwala, akala kaali kasajja akaakula nga kannakkwale….akantu ako nga katabani k’omwami akakulu.”

i) Ebigambo ebyo bisimbuddwa mu ssuula ki?

ii) Ani gwe baali beetoolodde?

iii) Nyonnyola engeri omuwalal n’akasajja ako gye baali ensibuko y’ennaku n’ essanyu lya kanyumiza w’ebigambo ebyo.

 

OKOT P’BITEK: Omulanga gwa Lawino (Kyakyusibwa Abasi Kiyimba)

7. Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo kunkomerero yaakyo.

 

  1. 1. Bae wange musajja muyivu
    N’ebitabo yasoma nkumuliitu.
    Yasooka kusomera Makerere
    Ku kasozi k’abayivu,
    Bwe yava eyo n’agenda mu nsi z’ Abazungu,
    Naye bw’omubuuza ekibuuzo
    ng’anyiiga,
    Ng’agamba nti omusoomooza
    Onoonya kumuoima magezi
    Ng’obuuza ebibuuzo ebitalina makulu
    Ebimumalira obumalizi ebiseera
  2. 2. Bw’ava ku ekyo n’alanda
    N’ayomba n’avuma;
    Mmuleetako obusirusiru bwa bannakyalo,
    Nnyono mmubuuza ebibuuzo
    Ebiva mu bwongo obubisi
    Ebibuuzo by’abataasoma
    Omukulu no tatera kuba na budde,
    Naye obuvuma abantu bwo abufuna.
  3. 3.Omwami wange annangira
    Nti obwongo nnina bufunda
    Nti ate engeri gye butabugumangako
    Waliwo ebintu bye sisobola kutegeera
    Kubanga byo bitegeerwa babugumyeko.
    Mbu ne bw’anaagezaako okunnyanukula
    By’anaayogera sijja kubitegeera,
    Kubanga waddw anaabaayogedde Lucholi
    Nja kwetaaga omuvvuunuzi,
    Anti ye olulimi lw’ayogera lwa kikugu,
    Lwa kigunjufu era lutegeerwa baasomako.
 
4.Bw’amala ebyo n’atukudaalira:
Tulina okukitegeera
Nti ebintu ebimu bye tubuuza
Tebisobola kwanukulwa mu Lucholi
Kubanga lulimi lwa wansi nnyo
N’abalwogera si bagunjufu,
Era terusobola kunnyonnyolerwamu 
Nsonga za kitegeevu,
Kubanga n’ebigambo tulina bitono.
Ate lwo olulimi lw’abazungu,
Lugagga lwa bigambo
Era lunyuma nnyo;
Lwe lugwana okukozesa
Okunnyonnyola ensoga
ez’ekitegeevu.

5. Ocol takyalina budde bwa kwonoona
Ng’ayogera n’ ekintuntu ekiri nga nze, 
Ekitayitangako mu ssomero
Era ekitayinza kutegeera nsonga za kigunjufu,
Engeri gy’ali omuyivu owa Univaasite
Ensonga ze asana kuzoogera na bayivu
Ba mutindo ogwo,
N’okuwuliriza obuwuliriza ebibuuzo
Bye ndokompoka nabyo
Awulira aba yekkakkanyizza nnyo.

6. Ebintu bino byonna bw’aba abyogera,
Tantunula mu maaso
Akyuka n’ankuba amabega
Nayogera ng’alatta
Nga bw’akola n’ ebintuntu ebirala
Kubanga ebiseera alina bitono

Ebibuuzo:

a) Bw’osoma ekitontome kino kikuteeka mu mbeera ki era kimi ekikuleetera okutuuka mu mbeera eyo?

b) Omwogezi atukakasizza atya nti gw’ayogerako wa bitabo?

c) Nyonnyola engeri omwogezi gy’ayanukula bba.

d) Omuwandiisi ayolesezza atya obukugu mu kutontoma?

e) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu kitontome.

i) … omusomooza

ii) … obubisi

iii) …. lwwa kikugu

iv) ….ndokompoka

 

PULOOZI

8. Soma ekitundu kino n’ oluvannyuma oddemu ebibuuzo ebikikwatako

OKUYIGA KUYIGGA

Ebirwa bikyuka, amalusu gafuuka engeregeze. Ggwe omuyizi asoma bino okimanyi nti oli muyizzi? Funawo enjawulo wakati w’okuyigga n’okuyiga,Nkiddamu ate nga nkikakasa nti, oli muyizzi! NKimanyi nti ggwe eyataganjula ebitabo by’abawandiisi b’Oluganda abenjawulo, okugeza nga Adam Kimala ogenda kukwata ensobi emu bw’eti nti, wano mu Buganda abakazi/abawala baali bayizze ddi?! Oli mutuufu kyokka ate nange siri mukyamu! Olwo ffembi tuli batuufu? Ekyokuddamu kiri nti yee! Nkimanyi nti obutuufu bwange obubuusabuusa naye w’onoomalirayo bino nga okkiriza nti oli muyizzi. Lindirira

Omulimu gw’okuyigga gwolekebwa nga abaami banoonya enva, olwo bawonye abaagalwa baabwe amaluma. Nkimanyi kino tekikutuukirako, naye okimanyi nti osoma osobole okubeera obulungi mu maaso eyo nga bw’oba ofunye amaka abantu bo tebafa maluma na njala? Kirowoozeeko. Kino kye kindeetera okwewuunya abaana abazannyira ku miyiggo gwabwe, mpozzi n’ okubatuusa ku nnamwabukirabusa! Kozzi olwo bwe luba lugero lugenda lutya? Wadde sikulaba naye nkimanyi ntiweetakula mutwe mbu ate awo omusomesa teyatuukawo! Olwo oli ku kizigo kw’osaaatuukira! Ssaatuuka! Ka nkusabire ensolo yo ku kizigo esigaleko.

Nze oluusi mbalaba ngamuzze mu kibiina nga temulina yadde olupapula, ekitabo oba ekkalaamu mwe Mugenda okuwandiika ebibasomesebwa era ne mufuba nnyo okwewana nga bwe muyisizza ebibasomesebwa era ne mufuba nnyo okwewana nga bwe muyisizza omusomesa ku litalaba! Mulimuyiseeko! Olwo mba ndaba omuyizzi eyewaanye nga bw’awonye okusitula ekitimba oba ekituula kyokka ate n’ayolekera ekizigo mbu agenze kuyigga! Wamma mwebale abafaayo okusitula entuula zamwe, ate ne mufuba okulaba nga temuzisuula ku kkubo nga temunnatuuka ku kizigo.

Buli lw’okwata okubuulirirwa kw’omusomesa, n’osoma ebyo by’akulagidde ne weesomera n’ebibyo ku bubwo ebikwatagana n’essomo ly’ oli mu kusoma, olwo many anti ensolo ku kizigo kweri. Kinyuma nnyo okwetegekera okuyigga obulungi kubanfa kitegeeza nti ojja kuteekamu n’obudde ozige nga tonnayigga. Bw’oduma obudumi n’ogenda mu kibira nga tozize, wandidda n’emmese emmende! Kyokka bw’oziga obulungi ate nga tozize bisubi,osobola okudda n’enjovu! Weetunuuliremu kaakano oli ku ku kizigo era osaggula. Enneteekateeka yali ya mmese mmende oba njovu? Bw’eba ya mmende, toggwaamu maanyi kasita toyabukide busa! Naye Kino kitegeeza nti ku ddaala ly’ebyokuyiga eriddako osanidde oyongeremu amanyo oveeyo n’enjovu. Funvubira

Bulijjo abasoma musaana ne mufaayo nga muyigirisibwa si kufuuka nga bali be basaggira ate bbo ne badda mu kukolola! Simanyi omanyi olwo nga bwe luggwaayo? Omusomesa okwefiiriza buli kadde n’akusomesa olwo aba akusaggira. Era bw’oba oyagala okufuna ku nnyama ewera, olinakubeera mu kasirise olwo ensolo n etoola mu kitimba kyo! Simanyi kati olaba okuyoga bwe kufaanira ddala okuyigga! Muyizzi akumma, n’akunyumiza eŋŋombe! Era ndabiraddala nga kaakano weeteekateeka okunyumiza ab’eka eŋŋombe! Era ndabira ddala nga olw’okweteekateeka kwo okulungi eŋŋombe ojja kugibanyumiza na maanyi. Weetegeke.

Kanokabeera kaseera ka ssanyu ng’otegeeza/ng’onyumizza banno naddala abooluganfa engeri ebyo bye wayigga mu byenjigirizza gye byagendamu. buli mulimu n’empeera, era ky’osiga ky’okungula. Bukyanga mbaawo, sirabanga katunkuma abala ntula! Kino nno kitegeeza nti bulijjo tusaanye tusige ebyo ebisingako obulungi, nti amakungula bwe gatuuka tukungulire mu ssannyu. Kiba kibi nnyo be walese eka okulinda obanyumize eŋŋombe kyokka n’ ofuuka gw’ekanyanya kubanga wakololera ku kizigo ensolo n’ebuukako!! Okolola? Nze ndi mukakafu nti eyiyo kweri era weetegeke kutunyumiza ŋŋombe. Kati olwo bwe nkuyita omuyizzi mba mukyamu? Fumiitiriza.

Ebibuuzo:

a) Leeta embeera bbiri (2) ez’enjawulo z’obeeramu bw’osoma ebiwandikiddwa mu kitundu ekyo era ow’ensonga lwaki obeera buli emu ku mbeera ezo z’ olaze.

b) Nyonnyola bulungi olulimi lwa bika bibiri (2) omuwandiisi lwe yeeyambisizza mu kitundu kino.

c) Laga obukodyo bwa mirundi etaano (5) omuwandiisi bwe yeyambisizza okutunyumiza by’atunyumiza by’atunyumiza mu kitundu ekyo era onyonnyole n’ engeri buli kamu gye kakuyambyemu okutegeera byosomye.

d) Nyonnyola amakubo ga mirundi ebiri (2) omuwandiisi mw’ayise okumatiza omusomi we nti ddala okuyiga kuyigga.

e) Sinziira ku kitundu ky’osomye onyonnyole bino mu lulimi olwangungu ng’obikwataganya bulungi n’ omulamwa gw’ekiwandiiko.

i) Olwo oli ku kizigo kw’osaatuukira.

ii) Olwo many anti ku kizigo ensile kweri

iii) Eŋŋombe ojja kugibanyumiza na maanyi.

iv) Kubanga wakololera ku kizigo ensolo n’ebuukako

v) Enteekateeka yali ya mmese mmende oba njovu?

 

8. Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuzo ku nkomerero yaakyo.

OKUFA NNAKU

Nzijukira abaana battu abafudde
wamme ne nnyolwa

  1. Okufaaaaaa!!
    Okufa kubooza amaziga
    Okufa kuleeta obuggya
    Okufa kuyigga entondo
    Okufa kuzaala obunaku
    Mazima kutonda ebingi!

  2. Abasajja beeyuna ossima
    Ebeera mbaga yennyini
    Abalenzi beeraga Ottumwa
    Abawala babuna enzizi
    Mu budde bw’okufa

  3. Obwana bukaaba budaaga
    Abazadde bakaaba basinfa
    Emikwano gikaaba gitenda
    Oluganda lukaaba lulojja
    Ddala okufa kubooza amaziga!

  4. Abakaabi basinda bapaala
    Abalala bakaaba balinda
    Abakaabi baloja bakweka
    Abalala bakaaba balwana!

  5. Abafiirwa bawalana bakaaba
    Beegomba, balojja, balooma
    Balaba abalamu, bakaaba bajjukira
    Balaba omulamu, batunula beegomba
    Bogera bakweka, boogera beesaanya
    Olwo okufa kuzadde obuggya!

 

6. Kituufu baboola bakaaba?
Ddala bakaaba babola
Kituufu basinda banyiiga?
Ddala, banyiiga basinda.
Kituufu okufa kuzaal entondo?
Batondowala, basinda mu kufa okwo. 

7. Okufa kuleeta obunaku?
Obwana bugabanwa butwalwa
Abakyala basigala nga mwandu
Abasajja balaluka nabo mwandu
Abalala bagenda kipayoppayo
Ddala banakuwavu mu kufa okwo!


8. Kufa kutonda empalana, kuleeta enjawulo!
Okufa kuzaa;a eminyora, kutonda ebinene!
Okufa kuleeta obukopi, kuyigga abantu.
Okufa kuteala abanene, kutwala abatono
Okufa kukyusa endabika, kusomba endwadde
Kwo okufa kutonda ebingi!
Kuzaala empalana
Kuleeta amaziga
Kuleeta obuggya
Kuleeta entondo
Kuleeta obunaku
Okufa okwo!

 

 

Ebibuzo:

a) “Okufaaaaa!! Olowooza lwaki Masagazi ekitontome akitandise bw’atyo?” Leeta ensonga ttano (5) ez’enjawulo.

b) Nyonnyola bulungi engeri bbiri (2) ez’enjawulo omuwandisi zeyeeyambisizzamu olukusa lw’ omutontomi.

c) Omuwandiisi alafuubanye atya okunyumisa ekitontome kye? Wa ensonga musanvu (7) n’ ebyokulabirako.

d) Enyiririzino zitegeeza ki?

i) Mazima kutonda ebingi

ii) Abawala babuba enzizi

iii) Abalala bagenda kipayoppayo

iv) Kuleeta enjawuko

e)Bw’osoma ekitontome kino kikussa mu mbeera ki? Nokolayo ebintu bina (4) ebisinga okukuvirako okubeera mu mbeera eyo.

 

9. Nyonnyola engeri omuwandiisi gy’ayise mu bitontome bino okukyusa enneyisa y’abantu ababisoma.

 

M.B.NSIMBI: Bwali Butamanya

10.“Nze siri kaana kato k’oyinza okuwa amagezi ku bintu ng’ebyo. Nakula dda ne ntuuka okweramulira.”

i) Laga ebintu mukaaga (6) bye tuyinza okusinziirako okusaasira agambibwa ebigambo ebyo.

ii) Omuze ogwavaako okwogera ebigambo bino ye kanaaluzaala w’obutamanya Nsimbu bw’atunyumiza. Kubagannya ebirowoozo.

11. M.B Nsimbi agenderera ki okutulaga bannyina ba Kasolo mu Bwali Butamanya?