1. a) Funza ekitundu kino mu bigambo nga 100

ESSIMU

Munnage ggwe akozesa essimu zino ez’omungalo oba ziyite buliwendinkufuna bino bibyo. Essimu yo giteeke mu ddoboozi etonotono ereme kuleekaanira balala. Naye gwe munnaffe essimu n’ogiteeka mu ddoboozi nga n’ali mu mayiro ekkumi okuva w’oli awulira!

Bw’ogenda mu kifo ekiteetaaga kutaataganya balala ka tugeze nga mu kusinza, mu lukiiko, mu ddwaliro oba mu nkuŋŋaana ezitali za ngeri zimu, ggyako essimu yo oba kendeeza eddoboozi oleme kugireekanyiza balala. Mu ssimu yo kozesa akayimba akagya mu myaka gyo era nga tekaswaza. Lumu twali tutendereza Omutonzi, essimu y’omukulu omu n’evuga ng’eyimba “Akabina kagenda kapaapaala”. Buli muntu yakyuka n’amutunuulira, n’aswala!

Singa omuntu akukubira essimu n’otogiwulira, kya mpisa okuddamu okumukubirako omanye ky’abadde agamba. Kino kiraga omuntu alina obuvunnanyizibwa ate era afaayo ennyo ku balala. Ne ku bubaka obuwandiike era kola bw’otyo. Munno muddemu amanye nti obubaka bwe wabufunye ate era omusiime bwe kiba kyetaagisa.

Nga tonnaweereza bubaka buwandiike sooka obusome ate weetegereze ennamba kw’ogenda okubuweereza si ku lwa nga buwaba. Olumu oyinza okuweereza omuntu omulala obubaka obwandigenze ew’omuntu owekinywi kyo, okukkakkana ng’obotodde ekyama oba ng’omuwemudde! Olaba! Weegendereze.

Bw’ofuna essimu ng’oli mu bantu, mwattu yogera bulungi ate mpolampola. lekka kuwogganira balala ate era totumbula simu yo buli muntu kuwulira bye mwogera. Ogenda n’ owulira omuntu ng’aleekana ng’akirako ali emmanga mu lusuku eteri bantu oba gamba nti ali mu ttale. Leero bwe muba mu takisi, oyinza okutunuulira omuntu ng’awogganira ku ssimu n’osoberwa!

Bw’oba tolina budde bwogera na muntu akukubidde, osaana oyogere naye, omwetondere era omugambe nti onoomukubirako edda. Si kya mpisa kumala gamuggyako ayinza okulowooza nti tokyamwetaaga mu bulamu bwo.

Bwe muba mutambudde wamu ng’abaagalana oba ab’emikwano leka kubeera ku sssimu lugenderezo. Ekyakuleese mu banno kunyumya kati ekikubeeza ku ssimu kiki? Obwo si buntu bulamu. Leero nno wali zino ezookukoonako obukoonyi! Ha! Omuntu n’adda mu kusonga obugalo n’osinwa! Nyumyako ne banno oba toyagala genda ewuwo onyumye n’essimu yo.

 

2.a) Ku mitwe egikuweereddwa londako gumu oguwandiikeko emboozi ya bigambo 380 -400

i) Ezaamuweerera zaafa busa

ii) Okupangisa lumbe lwa kubiri. Kubaganya ebirowoozo

iii) Obukulu bw’okwekebeza omusaayi ku kawuka ka siriimu

 

b) Ku mitwe gino wammanga londako ebiri (2) buli gumu oguwandiikeko embozi nga bw’ olagidda

i) Kitwale nti Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akuwa obwami Wandiika by’onooyogera nga weeyanza obwami obwo (Kozesa ebigambo nga 200)

ii) Ggwe mwogezi omukulu mu musomo ogutegekeddwa ngagukwata ku by’entambula. Wandiika by’onooyogerera mu musomo ogwo ku mutwe guno. “Ebyentambula mu Uganda”. (Kozesa ebigambo nga 200)

iii) Kitwale nti ggwe mukulu wa Kampuni emu mu ggwanga. Mwalanga omulimu ogw’ okujjuza ekifo ekimu mu Kampuni eyo. Wandiikira omu ku bantu abaali basabye omulimu ogwo ng’omutegeeza ng’ okusaba kwe bwe kutaayitamu. (Kozesa ebigambo nga 120 - 150)

iv) Ggwe mukulu w’ekibiina ky’enkula enfaanana y’ensi mu ssomero lyammwe (Geography Club). Wakulembedde bayizi banno okugenda okusomera ebweru w’ekibiina (Field Work). Wandiika alipoota gy’onoowa omukulu akulira eby’ensoma mu ssomero (Director of Studies) nga mukomyewo. ( Kozesa ebigamo nga 200)

 

3. Soma ekityndu kinooluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

BUGANDA

Kabaka Kimalempaka Bukulu bwe yalaba ng’akaddiye nnyo obwakabaka n’abuwa mugandawe Ntege Nalusiri Buganda alamule mu kifo kye. Ntege naye teyagaana n’alamula ensi Muwawa nga ne mukulu we Bukulu akyaliwo. Kabaka Kimalempaka bwe yafa abataka. Ntege yagaana ng’agamba nti, “ndi Kabaka, mukulu wange obwakabaka yabumpa akyali mulamu, era nze nnamula n’olwekyo tewali nsonga endeeta nga nga Kabaka ate okubikka akabugo.” Abataka baawuliriza ne balaba nga Buganda Ntege mutuufu.

Abataka kwe kuyota Nankere Kiwuttakyasooka I agende abikke akabugo ku kitaawe olw’okutuukiriza akalombolombo ako akaali katalekeka. Mu kukola kino, Nankere yasikira omusaayi gwa kitaawe ate kitaawe omuto Ntege n’asikira obwakabaka bw’ensi Muwawa. Olw’okulongoosa obulungi omukolo, abataka baasaba Nankere okuksakasaa Ntege ku Bwakabaka ng’ amusumikira ng’amutala n’ejjoba. Yaddira engule gye baali bamutikkidde olw’okubikka akabugo ku kitaawe Bukulu n’agitikkira Ntege okumukakasa ku bwakabaka. Nankere yasooka kugyetikkira n’agyeggyako n’agitikkira Buganda.

Wano we waava akalombolombo aka Nankere okukakasa n’okulangirira alidde Obuganda okuba Kabaka. Era Nankere y’omu ku bataka abatafukaamirira Kabaka. Kabaka Ntege olubiri lwe yaluzimba Kazo kumpi ne Jjinja Kaloli mu Kyaddondo, so si Ttimbaali mu Busiro kubanga mukulu we Bukulu yali akyalulimu nga tannafa. Mukulu we ng’amaze okufa, Kabaka Ntege olubiri lwe yaluggya e Kazo n’alukuba e Lunnyo mu Busiro.

Mukulu wa Ntege, Kimalampaka Bukulu yali mufuzi mulungi nga tafubutukira nsonga. Yasookanga kusirikan’azekkaanya. Ekyo “Bukulu kye kyamutuumya KIMALEMPAKA (kusirika). Yatendeka Ntege bulungi ddala mu kwekenneenya ensonga ne mu kulungamya abantu mu mirembe okutuusiza ddala lwe yamuteera Obwakabaka ye ng’alaba akaddiye, Kabaka Ntege Nalusiri Buganday’omu ku bakabak ab’oluse lwa Tonda abaasingira ddala okufuza amagezi, obwenkanya n’emirembe. Abantu baamwagala nnyo era n’abeera mututumufu nnyo olw’enfuga ye ennugi. kabaka Ntege ye jjajja w’Abamafumbe. Mutabani we Ntege Walusimbi yasenga ku lusozi Kisirikikadde mu Busiro gye yasimbira omutuba, era mukulu w’ Akasolya k’Effumbe.

Kabaka Ntege ne bwe yakisa omukono teyava ku myoyo na mitima gya bantu ba nsi ye. Yali Kabaka wa 33 mu Bakabaka ba Buganda era yafuga okuva mu 1120. Bakabaka abaamuddirira nga ensi ekyayitibwa Muwawa mulimu Namusera eyali 34 (1140 - 1160), Mudandali owa 35 (1160 -1180), Bemba owa 36 (1180 - 1200), n’abalala,Abamu baali balungi naye nga tebenkana Ntege, naye ate ye Bemba yali mubi okuzaama. Bemba yali mutabani wa Kabaka Mudandali era ye Kabaka eyasemba mu luse lwa Tonda. Yali wa nkwe nnyo. Yasigala mu Lubiri lwa kitaawe e Nnaggalabi (Buddo) nga kitaawe amaze okufa. Yanyaganga ebintu by’abantu, ngabattira n’obwereere. B’atattanga ng’ababonyaabonya okuzaama.

Bwe yabakaabya ennyo akayirigombe ne baagala okumuggya ku bwakabaka bamusikize omulangira omulala. Ekyo olwakimanya n’atandika okutta abalangira be yali alowooza okumusikira kyokka yabattanga mu mankwetu. Olwo kwe kumuyita “omusota.” Abalangira abasing obungi baddukira Ssese nga bwe bagamba nti tudukke si kulwa ng’omusota gutubojja.

Mu kiseera ekyo ne Kintu mwe yatuukira mu nsi Muwawa natabaala Bemba. kabaka Kintu ye Kabaka omubereberye ow’oluse olwaddira olwa Kabaka Tonda. Bwe yatabaala Bemba, Abalasangeye bangi baamwegattako mu lutalo sinziggu olwo. Kabaka Bemba baamuwangula n’okumutta ne bamuttira e Nnagalabi (Buddo) mu lubiri lwe. Mu ntujjo ey’ekitalo ne mu mizira emiyitirivu, Kato Kintu Abalasangeye baamufuula Kabaka waabwe. Abantu baatoowolokoka nga bwe bagamba nti “kati emirembe gizzewo nga ku Kabaka BUGANDA.” Omuntu bwe yabuuzanga munne nti “mirembe” oli ng’amuddamu nti “egya Buganda”. Okuva olwo Muwawa n’eyitibwanaga Buganda (ensi ey’emirembe), ate abantu baayo ne bayitibwa Abaganda (Abantu ab’emirembe.)

(Bisimbuddwa mu: Ennono n’enkulakulana ya Buganda ekya Bro.A. Tarsis Nsobya)

Ebibuuzo:

a) Nyonnyola amakulu g’erinnya Buganda

b) Nsonga ki eyagaana Ntege okubikka akabugo ku Kimalempaka?

c) Nyonnyola ensibuko y’akalombolombo ka Nankere okutikkaira Kabaka.

d) Nyonnyola ensoga ssatu ezaaviirako Abalasangeye okukyawa Kabaka Bemba.

e) Leeta ensonga ssatu eziraga nti Ssekabaka Bukulu Kimalempaka yali mufuzi mulungi

f) Laga ebbanga Kabaka Buganda lye yafugira Muwawa onyonnyole n’engero gy’olituuseeko.

g) Nyonnyola ku makulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambusiddwa:

i)……tafubutukira

ii) …..ab’oluse

iii) ….. akayirigombe

iv)…..mankwetu

v) ….n’atabaala

vi)…. Abalasangeye

 

 4.  Kyusa ekitundu kino okizze mu Luzungu

OMWANA WO OMWAGALA?

Ka nkunyumizeeko ku bye ndabye ng’omuyizi ate omutuuze mu Bungereza.

Ekintu ekisooka kye nazuula ku bayizi ba Yunivasite abazaalibwa mu Bungereza kiri nti bonna bakola emirimu gy’ okuggyamu obuyambi buli luwummula luene oba nga ku nkomerero ya ssabbiti, ng’ ozingidddemu n’abaana ba ba binnyonkondo..

Yafuuka nkola yaabwe nga totunuulidde bugagga bazadde baabwe bwe balina. Era nakizuula mangu ntiabayizi abalala boona abagwira bakola ekintu kyekimu ng’oggyeeko abamu ku ffe abava mu Uganda abaali betwalira waggulu olwobugagga bwebalina eka.

Nnalaba ne Richard Branson nannyini kkampuni engagga ate nga nnene ng’ayogera ku bulamu bwe, naye kyannewuunyisa, ng’agamba nti abaana be abato batambulira mu nnyonyi za kyavu wadde kkampuni y’ennyonyi ya kitaabwe. Kino kibateekateeka obutalowooleza mu bulamu bwangu, kubanga basobola obutafuna mukisa kufuna bugagga ng’obwa bazadde baabwe.

Entendeka eno kyakulabirako ekimala okusomesa abaana bano nti bateekeddwa okulwana okulaba nga beyimirizaawo. Okunoonyereza okwangu kukulaga nti abaana mu Uganda balemwa okumanya obwetaavu obuli mu kukola emirimu egibayambako nga bakyali mu Yunivaasite. Abayizi abagwira abala mu Bungereza kino bakikola.

Tewali nnyonyi ya nkalakkalira nga ya woofisi ya Katikkiro mu Bungereza. Atambulira mu za bantu ba bulijjo, era ekintu kye kimu kye kiri ne b’olulyo Olulangira.

(Kisimbuddwa mu: The New Vision Balaza, Muzigo 5, 2012)

 

b) Kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda.

 

CHALLENGES FACED BY WORKING PARENTS

A number of working parents say that their parental responsibilities greatly affect their job performance since they are expected to work hard to meet the domestic and work place demands. Some employers give much work to their workers everyday, which forces most parents to put in extra hours in order to impress their bosses. “You can’t leave work at 5:00P.M when your desk is full simply because you have to go back home early to attend to your children. My conditions of service stipulate that in order to keep my job. My work comes first”, a female employee said.

The school system in Uganda also puts a lot of pressure on the children and even if the parents tried to create time to be with them, the children would not be available due to the heavy school workload in form of home work. Other parents are however of a different view, saying that there is much time to spend with their children after work but the problem is lack of money to cater for their needs. “We would want to spend time with our children, but what do you do with them when you don’t have money? When you are given time off to be with them, you begin to see your own children as a burden and hence you resort to hiding at a drinking place with your friends hoping that you will find them in bed by the time you back home”, said a male parent working with a factory.

(Extracted with minor modifications from : Situational Analysis of Workers with Parental Responsibilty by UWONET)