1.a) Nyonnyola lwaki omuntu atasomanga kitabo, Eddame lya Nsimbi teyenkanan n’oyo yali akisomye kumanya byabuwangwa.

b) Matovu by’akoleddde eggwanga lye bimugwanyiza okuyitibwa “omusajja enjasabiggu”. Wandiika ng’okkiriziganya n’ endowooza eno.

 

2.a) Nyonnyola ebintu Busuulwa by’ awandiika mu Byonna Byambyone bwe biyinza okuzimba omuvubuka w’ennaku zino.

b) Nyonnyola omugaso gw’obuweereza bwa S.SBusuulwa eri eggwanga lye Uganda.

 

3a) Akamu ku bulombolombo obukyagobererwamu mpisa y’ okufumbiriganwakwekutwala “kaasuzekatya”. Nyonnyola omukolo guno engeri gye gukolebwamu n’ obukulu bwagwo

b) Nyonnyola ebya wula abalongo ku baana abalala mu Buganda.

 

4.a) Kaswa u nnyanjula y’ekimu ku bitabo bye agamba nti, “///anti nail nkyawakankula ebifa ku butiko ebingi”. Ebingi ebyo by’ayogerako ku butiko bye biriwa?

b) Singa ggwe obadde omwogezi omukulu ku mukolo ogw’okujjukirirako omugenzi Jackson Kaswa, bintu ki bye wandimwogeddeko?

 

5a) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bitaano (5) onyonnyole amakulu gaabyo:

i) Okulabira obusse mu luggi

ii) Okukola ekintu amatugutugu

ii) Okutambula muwulule

iii) Okuwerekeza omuntu Muwanga.

v) Ekisa okukuba omuntu omuntu ku mpagi

vi) Omutima okutujjiramunnaswi

vii) Okukulagalumonde ow’ embwa

viii) Okwokera enseenene ku miindi

 

b) Ku bisoko ebikuweereddwa wammanga londako bitaano (5) obikozese mu sentensi eziggyayo amakulu ggabyo ag’omunda

i) Okuliisa amaaso

ii) Omuntu okutambula ng’asiira

iii) Okuwulira empulubujju kukintu

iv) Okuguma obukana

v) Okuyeekera engere

vi) Okuseka amakkete

vii) Omuntu okwanjaza akati mu nsimbi

viii) Okwota ekintu obuliro

 

 

6a) Saza omusittale ku bigamboebinyonnyola erinnya eriri mu buli emu ku sentensi zino wammanga.

i) Omusota ogulina ebisagazi ku mutwe baagusse na nkumbi.

ii) Nagujja eyali atusomesa Oluganda kati mukulu wa ssomero!

iii) E Nabbingo gye twakubiranga embwa ne ziboggola ndudde okgendayo.

iv) Lubuulwa eyatwala empale zaffe ayise wano.

v) Ka ngendeko e Buyaaya awali nnyabo omuto

vi) Gulama gwe batubuuzizza ku mulundi guno twamusomako.

 

b) Ddamu owandiike sentensi zino nga amannya agalimu gasigiddwa.

i) Mukasa abadde wano

ii) Nalule ne Nalubega bajja kugendayo

iii) Empale zange ozitadde wa?

iv) Emiti gitemeddwa gyonna

v) Akambe ke batutte

vi) Ekitabo ekyasinga okutunyumira tetukyakirina

 

c) Wandiika sentensi mukaaga (06) nga buli emu erimu erinnya erikolebwako okusooka n’erikolebwako oluvannyuma (kaabulindiridde ne Bisangawano. Saza omusittale ku Bisangawano.)

 

d) Nyonnyola amateeka g’empandiika y’Oluganda mukaaga (o6) agafuga “Nnakinnyindwa”.

 

e) Ebikolwa bino wammanga ebimanyiddwa ng’ebiyambi (ebiteemala)ate biyinza okukola ng’ebyemala. Bulikimu kikozese mu sentensi nga kikoze ngaekyemala:

i) sooka

ii) ba

iii) mala

iv) yinza

v) va

vi) ja

 

7.a) Ku ngero zino wammanga, londako ttaano (5) ozimalirize nga bwe zoogerwa

i) Musajja munno ggoli………

ii) ……..teziriibwa busolo

iii)………wekaatikira

iv) …….emala abagabe

v) ……gwe zizinda teyeebaka

vi) Olukuba empanga lulekera

vii) Omusira nnumbu……..

viii) “Na wano lulyabirawo”,………

 

b) Londako engero ttano (5) olage kye ziyigiriza

i) Akuwa okulya yakutwala omuluka

ii) Entamu eyatikira omugoyo teyombya

iii) Ddiba likaze, enyomo zikolonge

iv) Sekirembwe kitaakule, kizimba mu lumuli

v) Ggambo bbi wamwenge alisanga ku mwoyo

vi) Akuwa okubaaga, aba akuwadde kulya

vii) Ayeeyereza omunafu y’amulwanya

viii) “Wano situkawo”, bw ovaawo assaawo mmanvu.